Tiimu y’e Bugema y’ewera bubinyo.

Tiimu y’e Bugema y’ewera bubinyo.

Yunivaasite y’e Bugema eraalise Makerere University Business School (MUBS) okujja n’ekisero kya ggoolo ze bagenda okumira mu nsiike esooka eya ‘quarter’ mu Pepsi University Football League. Bali ku kisaawe e Bugema bannyinimu we batannakubirwa mupiira gwonna sizoni eno ate tebannateebwamu ggoolo yonna awaka, bateebeddewo omugatte gwa ggoolo 11 mu mipiira esatu gye bakyalizzaawo. Baawuttuliddewo yunivaasite

Yunivaasite y’e Bugema eraalise Makerere University Business School (MUBS) okujja n’ekisero kya ggoolo ze bagenda okumira mu nsiike esooka eya ‘quarter’ mu Pepsi University Football League.

Bali ku kisaawe e Bugema bannyinimu we batannakubirwa mupiira gwonna sizoni eno ate tebannateebwamu ggoolo yonna awaka, bateebeddewo omugatte gwa ggoolo 11 mu mipiira esatu gye bakyalizzaawo.

Baawuttuliddewo yunivaasite y’e Kabale ggoolo 6-0, University of Kisubi (Unik) baagitimpudde 5-0 n’amaliri ga 0-0 ne Uganda Martyrs Nkozi abalina ekikopo kya sizoni ewedde.

Mu mipiira 6 gye baakazannya sizoni eno mu liigi ya yunivaasite, Bugema y’erina likodi y’omugatte gwa ggoolo ennyingi 18, bateebeddwamu ggoolo 3-1 bwe baali bakubwa Nkozi mu nsiike eyaggulawo sizoni.

Bwe baatuuse mu mizannyo gya AUUS egibadde ku UCU e Mukono mu December w’omwaka oguwedde, baavuddeyo nga be basinze okuteeba omugatte gwa ggoolo ennyingi 13 mu mipiira 7.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *