18 African Men’s Handball Championship 2022. Ttiimu y’eggwanga ey’abasaajja abatasussa myaka 18 mu muzannyo gwa Handball etandiise leero okugezesa emikisa gyayo mu mpaka z’Afrika eziyindira mu kaibuga Kigali ekya Rwanda. Bano oluvannyuma lwa ssente ezibatwala okusooka okubeekubya empi, ku Lwomukaaga baatambulidde mu bbaasi okugenda e Rwanda ,Leero baggulawo ne Libya mu nsiike esooka ey’empaka zino
18 African Men’s Handball Championship 2022.
Ttiimu y’eggwanga ey’abasaajja abatasussa myaka 18 mu muzannyo gwa Handball etandiise leero okugezesa emikisa gyayo mu mpaka z’Afrika eziyindira mu kaibuga Kigali ekya Rwanda.
Bano oluvannyuma lwa ssente ezibatwala okusooka okubeekubya empi, ku Lwomukaaga baatambulidde mu bbaasi okugenda e Rwanda ,Leero baggulawo ne Libya mu nsiike esooka ey’empaka zino .
Ku ttiimu 8 ezeetabye mu mpaka zino,Uganda eri mu Kibinja A omuli: Morocco,Libya ne Burundi ate ekibinja B kirimu: Algeria,Misiri,Madagascar ne Rwanda abategesi.
Mu kiseera kye kimu empaka zino ez’omulundi gwa 18 mu byafaayo ezikomekkerezebwa ku Lwokubiri September 6, 2022. Zigenda kukola ng’ezookusunsulamu amawanga agalyetaba mu z’ensi yonna (2023 IHF Men’s Youth World Championship) omwaka ogujja mu Croatia.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *