Oluvanyuma lw’okuvibwako abadde kaputeeni waabwe Joan Nampungu, kiraabu ya NIC eronze omuzannyi Florence Adunia ku bwa kaputeeni bwa ttiimu. Adunia wakumyukibwa Margaret Baagala ne Shifah Nalukenge. Amyuka omutendesi wa NIC Ali Mugisha ategeezezza nti ebimu ku byatunuuliddwa nga bawa Adunia obwa kaputeeni kwe kuba nga mukozi ate nga alina empisa. “Adunia yatondwa nga mukulembeze, mu
Oluvanyuma lw’okuvibwako abadde kaputeeni waabwe Joan Nampungu, kiraabu ya NIC eronze omuzannyi Florence Adunia ku bwa kaputeeni bwa ttiimu.
Adunia wakumyukibwa Margaret Baagala ne Shifah Nalukenge.
Amyuka omutendesi wa NIC Ali Mugisha ategeezezza nti ebimu ku byatunuuliddwa nga bawa Adunia obwa kaputeeni kwe kuba nga mukozi ate nga alina empisa.
“Adunia yatondwa nga mukulembeze, mu kakamu ate asobola okulola ensombi za banne nga taleseewo kusasamaza. Abazannyi bamwagala era manyi bulungi nga ye ne Adunia bajja kutwala ttiimu eno mu maaso,” Mugisha bweyategezeza

Joan Nampungu yava ku ttiimu ya NIC mu November w’omwaka oguwedde nga abakulirira kiraabu ya NIC bategeeza nti yatekamu okusaba kwe okuwumula okusobola okugenda mu maaso n’emisomo gye wamu nokulabirire famile ye.
Ssaawa eno NIC eri mukifo kyakusatu nobubonero 22 nga Prisons yekulembedde liigi nobubonero 24 nga ebwenkanyankanya ne KCCA abali mukyokubiri.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *