Ttiimu y’ebikonde eyongedde amaanyi mu kweteddeka.

Ttiimu y’ebikonde eyongedde amaanyi mu kweteddeka.

EMIRUNDI esatu ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ gy’esembye okwetaba mu mpaka za Africa Boxing Championship ewangudde emidaali 10. Ku midaali gino kuliko ogwa zaabu gumu, feeza ebiri kwossa egy’ekikomo ebiri mu 2022. Ne ku mulundi guno, eweze okussaawo omutindo mu mpaka ez’okuyindira mu kibuga Yaounde ekya Cameroon wakati wa July nga 25 ne August 6.

EMIRUNDI esatu ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ gy’esembye okwetaba mu mpaka za Africa Boxing Championship ewangudde emidaali 10.

Ku midaali gino kuliko ogwa zaabu gumu, feeza ebiri kwossa egy’ekikomo ebiri mu 2022. Ne ku mulundi guno, eweze okussaawo omutindo mu mpaka ez’okuyindira mu kibuga Yaounde ekya Cameroon wakati wa July nga 25 ne August 6. Ttiimu eno amakanda yagasimbye ku Forest Park e Buloba gy’etendekerwa ng’abakubi 17 okuli abasajja 11 n’abakazi 6 be bali mu nkambi.

Kapiteeni waayo, Joshua Tukamuhebwa agumizza Bannayuganda nti, “Minsoni gye tuliko ya kulumba Cameroon tukube buli atusala mu maaso. Abazannyi bali ffiiti, kuba babadde bazannya mu liigi y’eggwanga eya Champions League.” Omutendesi waayo, Twaib Mayanja, naye yakkaatirizza n’agamba nti mumativu n’omutindo gwa ttiimu era balinze ffirimbi yokka.

Ttiimu eno yamalira mu kya 15 mu zaali mu kibuga Maputo ekya Mozambique bwe yawangula emidaali gy’ekikomo 2 sso nga yamalira mu kya 5 mu za 2017 e Congo Brazzaville ku midaali 3 okwali zaabu 1 ne feeza 2. Mu zaali e Morocco mu 2015, yawangula emidaali 5 egy’ekikomo n’emalira mu kyokutaano.

ABAZANNYI ABAGENDA;

Abasajja; Tukamuhebwa (light welter), Joseph Kalema (minimum weight), Kassim Mulungi (feather), Wasswa Ssali (light weight), Ukasha Matovu (welter), Muzamir Ssemuddu (light middle), Ronald Okello (middle), Lawrence Kayiwa (cruiser weight), Mukiibi (light heavy), Solomon Geko (heavy) ne James Baraka (super heavy).

Abakazi; Emily Nakalema (welter), Grace Nankinga (L/Fly), Nadia Najjemba (bantam), Sharua Ndagire (feather), Zahara Nandawula (Light), Erina Namutebi (Light welter) ne Emily Nakalema (welter).

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *