Ttiimu y’eggwanga  eya Cricket yeepikira za Africa ICC World Cup Qualifiers.

Ttiimu y’eggwanga  eya Cricket yeepikira za Africa ICC World Cup Qualifiers.

Mu 2017 Uganda yategeka empaka za Africa ICC World Cup Qualifiers n’evumbeera era n’eddizibwa mu kibinja ekyokuna. Ezeemu okuzitegeka omwaka guno nga zitandise leero. ICC World Cup Challenge League B Uganda vs Jersey – Lugogo Cricket Oval Ssaawa 4:00 ku makya Ku Lwamukaaga: Hong Kong vs Yitale – Lugogo – Ssaawa 4:00 Kenya vs Bermuda

Mu 2017 Uganda yategeka empaka za Africa ICC World Cup Qualifiers n’evumbeera era n’eddizibwa mu kibinja ekyokuna. Ezeemu okuzitegeka omwaka guno nga zitandise leero.

ICC World Cup Challenge League B

  • Uganda vs Jersey – Lugogo Cricket Oval Ssaawa 4:00 ku makya

Ku Lwamukaaga:

  • Hong Kong vs Yitale – Lugogo – Ssaawa 4:00
  • Kenya vs Bermuda – Kyambogo – Ssaawa 4:00

Abazannyi ba ttiimu y’eggwanga eya Cricket bategeezezza nti bali bulindaala okwambalagana ne Jersey mu muzannyo ogunaggulawo empaka z’ekibinja eza Africa ICC World Cup Qualifiers ezitandise leero ku lw’okutaano mu Uganda.

Empaka zigenda kubeera ku kisaawe e Lugogo ne Kyambogo.

“Tuli beetegefu okuwa Bannayuganda essanyu naddala nga tuzannyira awaka. Tumaze omwaka nga tulowooza ku mpaka zino era kino kye kiseera. Twagala okunaaza amaziga ga 2017 ku Bannayuganda bwe twategeka empaka ze zimu wabula ne tuvumbera ekyatuzza mu kibinja ekyokuna nga twali tuluubirira kudda mu kyakubiri,” kapiteeni Brian Masaba bw’ategeezezza.

Yategeezezza nti abazannyi bonna balamu era tewali kwekwasa.  Amawanga 6 ge gali mu mpaka zino nga gagenda kukwataganira mu kibinja kimu. Amalala ye; Yitale, Hong Kong, Kenya ne Bermuda.

Uganda y’ekulembedde ekibinja bwe baazannyira mu ggwanga lya Oman mu 2018.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *