Ttiimu y’eggwanga ey’abawala ba basketball abatasussa myaka 18  yeesozze ez’Afrika.

Ttiimu y’eggwanga ey’abawala ba basketball abatasussa myaka 18  yeesozze ez’Afrika.

Ttiimu y’eggwanga ey’abawala ba basketball abatasussa myaka 18 bazzeemu okwesogga empaka z’ekikopo ky’Afrika omulundi ogwokuna mu byafaayo (2022 FIBA U18 Afrobasket). Uganda’s Junior Gazelles (abawala) Rwanda 50-71 Uganda Uganda 64-36 Tanzania Uganda 43-52 Rwanda Tanzania 43-63 Uganda Mu mpaka z’okusunsulamu amawanga aga Zone 5 ezimaze wiiki nnamba nga ziyindira mu kisaawe ekibikke ekya MTN Arena

Ttiimu y’eggwanga ey’abawala ba basketball abatasussa myaka 18 bazzeemu okwesogga empaka z’ekikopo ky’Afrika omulundi ogwokuna mu byafaayo (2022 FIBA U18 Afrobasket).

Uganda’s Junior Gazelles (abawala)

  • Rwanda 50-71 Uganda
  • Uganda 64-36 Tanzania
  • Uganda 43-52 Rwanda
  • Tanzania 43-63 Uganda

Mu mpaka z’okusunsulamu amawanga aga Zone 5 ezimaze wiiki nnamba nga ziyindira mu kisaawe ekibikke ekya MTN Arena e Lugogo, abawala ba Uganda (Junior Gazelles) baakubye Tanzania (63-43) ku fayinolo ku wiikendi ne beesogga ez’akamalirizo e Madagascar.

Mu nzannya z’ekibinja baatuuse ku nsiike esembayo nga benkanya obubonero butaano ne Tanzania gye baabadde battunka nayo ng’awangula y’alangirirwa ku bwakyampiyoni.

Musaayimuto Sylivia Nantongo ye yabadde omuzannyi w’empaka era eyasinze n’okukola obubonero obungi nga ku fayinolo yokka yakoze obubonero 17 ne libaawundi 11 yekka.

Guno mulundi gwakuna nga Uganda etwala abawala abatasussa myaka 18 mu z’Afrika (FIBA U18 Afrobasket), baaliyo mu 2008 (Tunisia), 2016 (Misiri) ne 2018 (Mozambique).

Ez’omulundi guno zaakuzannyibwa wakati wa July 23 ne August 7, 2022 mu kisaawe kya Mahamasina Sports Palace ekisangibwa mu Antananarivo e Madagascar.

Amawanga okuli; Tanzania, Rwanda ne Uganda abategesi ge geetabye mu z’okusunsulamu zino e Lugogo. Junior Silver backs ey’abalenzi ba Uganda teyavudde mu kibinja nga Rwanda eyitawo okukiikirira Zone 5 mu balenzi bwe baakubye Tanzania (84-49) mu nsiike esembayo.

Ttiimu bbiri ezinaakola obulungi mu z’akamalirizo e Madagascar zaakuyitawo okwesogga mu z’ensi yonna (2023 FIBA U19 World Cup) ezinaabeera mu kibuga Madrid ekya Spain wakati wa July 15 -23, 2023.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *