Ku baggunzi b’ebikonde 6 abakiikiridde Uganda mu mpaka za ‘Zone 3 Africa boxing Championship’ eziyindira e Tanzania, Teddy Nakimuli yekka ye yaakawanduka ng’abataano baawangudde enwana zaabwe zonna ezaasoose. Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ etandise n’amaanyi mu mpaka za ‘Zone 3 Africa boxing Championship’ eziyindira e Tanzania. Empaka zino ziyindira mu kibuga Dar-es-Salaam ekya Tanzania mu
Ku baggunzi b’ebikonde 6 abakiikiridde Uganda mu mpaka za ‘Zone 3 Africa boxing Championship’ eziyindira e Tanzania, Teddy Nakimuli yekka ye yaakawanduka ng’abataano baawangudde enwana zaabwe zonna ezaasoose.
Ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ etandise n’amaanyi mu mpaka za ‘Zone 3 Africa boxing Championship’ eziyindira e Tanzania.
Empaka zino ziyindira mu kibuga Dar-es-Salaam ekya Tanzania mu kisaawe kya ‘Benjamin Mkapa Stadium’.
Zatandise May 27, 2022 nga za kukomekkerezebwa nga June 5.
Ku baggunzi b’ebikonde 6 abakiikiridde Uganda mu mpaka zino Teddy Nakimuli yekka ye yaakawanduka ng’abataano baawangudde enwana zaabwe zonna ezaasoose.
Owen Kibira ne Joshua Tukamuhebwa baawangudde enwana zaabwe ebbiri ezaguddewo nga boolekedde okutuuka ku semi kwe batandikira okugaba emidaali.
Abalala abatandise n’amaanyi ye Isaac Zebra Jr. mutabani w’omugenzi Zebra Ssenyange eyakubye Nestroy Nduwarugira owa Burundi ku bugoba 3-1 ate Yusuf Nkobeza yakubye Omutanzania Franco Marko tonziriranga.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *