Ttiimu y’eggwanga ey’emisinde yatuuse dda mu kibuga Bathurst ekya Australia gyegenda okwetaba mu mpaka z’ensi yonna ez’okutolontoka ebyalo eza World Athletics Cross Country Championships ez’okubaawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga February 18, 2022. Ttiimu yasitula ku Lwakubiri lwa wiiki eno kumakya nga bano kati beegasse ku kyampiyoni w’empaka zino mu 2019, Joshua Cheptegei eyali yatuuka
Ttiimu y’eggwanga ey’emisinde yatuuse dda mu kibuga Bathurst ekya Australia gyegenda okwetaba mu mpaka z’ensi yonna ez’okutolontoka ebyalo eza World Athletics Cross Country Championships ez’okubaawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno nga February 18, 2022.
Ttiimu yasitula ku Lwakubiri lwa wiiki eno kumakya nga bano kati beegasse ku kyampiyoni w’empaka zino mu 2019, Joshua Cheptegei eyali yatuuka edda mu Australia ku Mmande ya wiiki eno.

Omuwendo gwa baddusi abagenze mu mpaka zino gwesaze okuva ku 26 okudda ku 23 oluvannyuma lw’abaddusi 3 ku ttiimu ya balenzi ento okulemererwa okufuna Visa. Kino kitegeeza nti abasajja bonna awamu basigadde 10 nga abakazi bali 13.
Empaka z’ensi yonna ez’okutolontoka ebyalo ezikyasembyeyo zaali mu Aarhus ekya Denmark nga Uganda ye yawangula omutendera gwa basajja oluvaNnyuma lw’okuwangula emidaali ebiri ogwa zzaabu ne ffeeza nga gya wangulwa Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo.
Wonna awamu Uganda yamalira mu kifo kyakusatu nga yakung’aanya emidaali mukaaga nga ku gyo ebiri gyali gya zzaabu, ebiri gya ffeeza ate ebiri gya kikomo .
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *