Olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, lukakasizza ensengeka y’emipiira egy’oluzannya lwa semifinal ezigenda okuzannyibwa nga 9 ne 16 omwezi guno ogwa October, 2022. Ku mutendera guno, Buddu egenda kuttunka ne Bulemeezi, Ssingo ettunke ne Busiro. Ensengeka zino zikakasiddwa mu lukiiko olutudde olwaleero ku Bulange e Mengo, lubadde lukubirizibwa ssentebe we mpaka zino Sulaiman
Olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, lukakasizza ensengeka y’emipiira egy’oluzannya lwa semifinal ezigenda okuzannyibwa nga 9 ne 16 omwezi guno ogwa October, 2022.
Ku mutendera guno, Buddu egenda kuttunka ne Bulemeezi, Ssingo ettunke ne Busiro.
Ensengeka zino zikakasiddwa mu lukiiko olutudde olwaleero ku Bulange e Mengo, lubadde lukubirizibwa ssentebe we mpaka zino Sulaiman Ssejjengo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu ttiimu zonna ezatuuse ku luzannya oluddirira olw’akamalirizo.
Minisita w’ebyemizannyo n’Abavubuka n’okwewummuzaamu mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, akubiriza ttiimu ezituuse ku mutendera guno okwongera okunyweza empisa ate n’okukulembeza obuntubulamu.
Akulira eby’ekikugu mu lukiiko oluddukanya emipiira gy’ Amasaza , Festus Kirumira agambye nti emipiira ku mutendera gw’oluzannya olusooka gigenda kutandika ku ssaawa 10. Emipiira egy’okuddingana gyakutandika ku ssaawa 9 ez’olweggulo
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *