Ttiimu z’e Katwe na Abasuubuzi bakaayanira kisaawe.

Ttiimu z’e Katwe na Abasuubuzi bakaayanira kisaawe.

OKUSIKA omuguwa kweyongedde wakati w’abasuubuzi wamu ne ttiimu ezisambira omupiira ku kisaawe ky’e Katwe bwe balemereddwa okukkaanya ku ani alina okukozesa ekifo era mu kaseera ki. Ekisaawe kino kisangibwa ku luguudo oludda e Ntebe bw’oba oyise ku Queens Ways nga kiri mabega w’akatale ka Ssaabasajja mu Katwe I. Wabula kiseera kino, mutera kubeeramu batunda birime

OKUSIKA omuguwa kweyongedde wakati w’abasuubuzi wamu ne ttiimu ezisambira omupiira ku kisaawe ky’e Katwe bwe balemereddwa okukkaanya ku ani alina okukozesa ekifo era mu kaseera ki.

Ekisaawe kino kisangibwa ku luguudo oludda e Ntebe bw’oba oyise ku Queens Ways nga kiri mabega w’akatale ka Ssaabasajja mu Katwe I. Wabula kiseera kino, mutera kubeeramu batunda birime nga ffene, amatooke n’ebirime ebirala, ng’ate oludda olulala bayiwayo kasasiro.

Adadi Tamale, kapiteeni wa Select FC ezannyanyira mu kibinja ky’e Makindye ekyokuna, emu ku ttiimu ezikozesa ekisaawe kino agamba nti, “Obuzibu buli ku bakulembeze b’akatale abaatuggyako ekisaawe ne basalwo okukiwa abasuubuzi nga muno mulimu abaleeta ebyamaguzi byabwe ne basulawo n’abalala okusiibamu.”

Ayongerako nti, “Kino kitulemesa okukozesa ekisaawe kino nga ttiimu ezitendekerwako kuba ekawungeezi tutuuka okwagala okukizannyiramu nga tetulina we tuzannyira ng’ate tetulina ngeri gye tuyinza ku kigabanamu okuggyako okukozesa obusonda bwakyo.”

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *