Ttiimu z’okubaka  zeetegekera liigi.

Ttiimu z’okubaka  zeetegekera liigi.

Makindye Weyonje vs Posta Africa Rewnwal University vs KCCA Mutlex Life Sport vs Posta Africa Renwal University vs NIC UCU vs Mutlex Life Sport Oluvannyuma lw’omwezi mulamba nga liigi y’eggwanga ey’okubaka eya National Netball Super League eyimiriziddwa, yaakuddamu enkya mu kisaawe ky’amakomera e Luzira nga kiraabu zirwanira obwannantameggwa bwa sizoni eno 2022. Liigi eddamu n’emipiira

Makindye Weyonje vs Posta

Africa Rewnwal University vs KCCA

Mutlex Life Sport vs Posta

Africa Renwal University vs NIC

UCU vs Mutlex Life Sport

Oluvannyuma lw’omwezi mulamba nga liigi y’eggwanga ey’okubaka eya National Netball Super League eyimiriziddwa, yaakuddamu enkya mu kisaawe ky’amakomera e Luzira nga kiraabu zirwanira obwannantameggwa bwa sizoni eno 2022.

Liigi eddamu n’emipiira etaano nga KCCA, Prisons ne NIC buli omu awera kufuna bubonero bunaabayamba okuwangula kikopo kya mulund guno. Ekikopo NIC eyagala kukiwangula mulundi gwakubiri ogw’omuddiring’anwa, Prisons enooya kyakuna ate nga KCCA bo tebakiwangulangako. Michael Kakande akulira akakiiko akategeka liigi agamba nti enteekateea zonna zibadde era asaba kiraabu obuteeraliikirira.

“Njagala okugumya kiraabu zonna nti liigi k’ezzeemu, tegenda kuddamu kuyimirira. Twalinamu okusoomoozebwa kw’ensimbi naye kati buli kimu kiri bulungi era kiraabu zirina kujja zizannye,” Kakande bwe yategeezezza.

Prisons y’ekulembedde liigi n’obubonero 24 mu mipiira 13 ng’ebwenkanya ne KCCA abali mu kyakubiri n’obubonero 24 mu mipiira 12 nga NIC eri mu kyokusatu n’obubonero 22.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *