Uganda Cranes ewanduse munteekateeka zókwetaba mu mpaka za CHAN.

Uganda Cranes ewanduse munteekateeka zókwetaba mu mpaka za CHAN.

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikakasizza nti ttiimu yéggwanga eya Uganda Cranes ewanduse munteekateeka zókwetaba mu mpaka za African Nations Championships CHAN, ezigenda okubeerawo omwaka ogujja 2023 mu Algeria. President wa FUFA, Eng Moses Magogo, yakakasiza okuwanduka kwa Uganda Cranes mu bubaka bwayisiza ku mikutu gye emigatta bantu, mwetegerezza nti kino kikoleddwa oluvanyuma

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikakasizza nti ttiimu yéggwanga eya Uganda Cranes ewanduse munteekateeka zókwetaba mu mpaka za African Nations Championships CHAN, ezigenda okubeerawo omwaka ogujja 2023 mu Algeria.

President wa FUFA, Eng Moses Magogo, yakakasiza okuwanduka kwa Uganda Cranes mu bubaka bwayisiza ku mikutu gye emigatta bantu, mwetegerezza nti kino kikoleddwa oluvanyuma lwóbutafuna nsimbi okuva mu ministry yébyensimbi eziddukanya emirimu gya ttiimu zéggwanga.

Eng Moses Magogo agambye nti nga bwe kyakolebwa ku ttiimu ya U23 bwe yawanduka mu mpaka za AFCON U23 qualifiers ku nsonga yeemu, era bwekikoledwa ne ku ttiimu ya CHAN kuba nga ekibiina tebabadde namagezi Malala gasobozesa ttiimu eno okwetaba mu mpaka ezo.

Uganda Cranes ebadde yakutandika okutendekebwa nga 21 omwezi guno era mu mpaka za Chan yatekebwa mu kibinja D ne Senegal, DR Congo ne Ivory Coast.

Empaka za Chan zetabwamu bazannyi bokka abazannyira ewaka, era Uganda Cranes ebadde ekiika mulundi gwa 6 mu mpaka zino.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *