Uganda Cranes egenze Tunisia.

Uganda Cranes egenze Tunisia.

Ttiimu yeggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes yasitudde eggulo negenda e Tunisia, gy’eyagenze okukuba enkambi okwongera okutendekebwa okwetegekera empaka za Chan ezigenda okubeera mu Algeria okuva nga 13 omwezi guno ogwa January. Mu Tunisia gyeyagenze era egenda kuzannyamu emipiira egyomukwano ne ttiimu ezenjawulo okwongera okwetegekera empaka zino. Ttiimu yagenze n’abazannyi 25 n’omutendesi Milutin Micho Sredojevic,

Ttiimu yeggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes yasitudde eggulo negenda e Tunisia, gy’eyagenze okukuba enkambi okwongera okutendekebwa okwetegekera empaka za Chan ezigenda okubeera mu Algeria okuva nga 13 omwezi guno ogwa January.

Mu Tunisia gyeyagenze era egenda kuzannyamu emipiira egyomukwano ne ttiimu ezenjawulo okwongera okwetegekera empaka zino.

Ttiimu yagenze n’abazannyi 25 n’omutendesi Milutin Micho Sredojevic, era mu mpaka za Chan eri mu kibinja B ne Dr Congo, Ivory Coast ne Senegal era egenda kuzannya omupiira gwayo ogusooka nga ettunka ne Dr Congo nga 14 omwezi guno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *