Uganda Cranes yakukiika mu mpaka za CHAN, efunye obuwumbi bwa shs 2.

Uganda Cranes yakukiika mu mpaka za CHAN, efunye obuwumbi bwa shs 2.

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kiweereddwa obuwumbi bwa shs 2 okuva mu government eya wakati, okuyambako ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes okwetegekera empaka za Africa Nations Championships CHAN, ezigenda okubeera mu Algeria omwezi ogujja. Uganda Cranes mu kiseera kino eri mu nkambi ku Cranes Paradise  Hotel e Kisaasi n’abazannyi 37, nga FUFA yakakasa

Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kiweereddwa obuwumbi bwa shs 2 okuva mu government eya wakati, okuyambako ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes okwetegekera empaka za Africa Nations Championships CHAN, ezigenda okubeera mu Algeria omwezi ogujja.

Uganda Cranes mu kiseera kino eri mu nkambi ku Cranes Paradise  Hotel e Kisaasi n’abazannyi 37, nga FUFA yakakasa dda nti yetaaga ensimbi obuwumbi 6 okuteekateeka ttiimu okuvuganya mu mpaka za CHAN.

President wa FUFA Eng Moses Magogo, agambye nti ensimbi zino era zigenda kuyambako okusasula amabanja aga ttiimu z’eggwanga ezavuganya mu mpaka za Cecafa U20 qualifiers ne Chana qualifiers.

FUFA kati ebeera yakafuna ensimbi obuwumbi 4.8 ku nsimbi obuwumbi 17 bwebalina okufuna okuva mu government mu mbalirira eriko eya 2022/2023.

Mu kwetegekera empaka za CHAN, Uganda Cranes egenda kusitula nga 1 January,2023 okugenda e Tunisia gy’egenda okuzannya emipiira egy’omukwano okwongera okwetegekera empaka zino.

Uganda mu mpaka za CHAN eri mu kibinja B ne DR Congo, Senegal ne Ivory Coast era egenda kuggulawo ne DR Congo nga 14 omwezi ogujja.

Uganda emirundi 5 gye yakakiika mu mpaka zino tevangako mu kibinja, era kati egenda kuweza emirundi mukaaga egy’omudiringanwa ng’ekiika

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *