Uganda efunvubidde okutwala aba Tennis mu Common Wealth

Uganda efunvubidde okutwala aba Tennis mu Common Wealth

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa ttena ey’oku mmeeza ekya Uganda Table Tennis Association (UTTA) kitandise okutema empenda ezitwala abazannyi ba Uganda mu mizannyo gya Commonwealth Games e Birmingham mu July omwaka guno. Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa ttena ey’oku mmeeza ekya Uganda Table Tennis Association (UTTA) kitandise okutema empenda ezitwala abazannyi ba Uganda mu mizannyo gya Commonwealth

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa ttena ey’oku mmeeza ekya Uganda Table Tennis Association (UTTA) kitandise okutema empenda ezitwala abazannyi ba Uganda mu mizannyo gya Commonwealth Games e Birmingham mu July omwaka guno.

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa ttena ey’oku mmeeza ekya Uganda Table Tennis Association (UTTA) kitandise okutema empenda ezitwala abazannyi ba Uganda mu mizannyo gya Commonwealth Games e Birmingham mu July omwaka guno.

Batandikidde ku mpaka ez’okusunsula ttiimu egenda okuvuganya n’amawanga amalala ezigenda okubeera mu India mu April awanaaba ezisembayo ez’okusunsula ezitegekeddwa ekibiina kya Commonwealth Table Tennis Federation (CTTF).

Abazannyi munaana mu basajja n’abakazi be baasunsuddwa mu nsitaano ebadde e Lugogo mu Indoor Arena ezeetabiddwamu abazannyi 32.

Pulezidenti wa Uganda Table Tennis Association (UTTA) Robert Jjagwe ategeezezza nti Uganda erina ekimisa mingi okuyisaamu ttiimu y’abakazi n’abasajja okugenda mu Commonwealth naddala singa gavumenti eneebawa ensimbi ezitwala abazannyi bonna mu India.

“Tuli ku mwanjo mu Africa era kisobokera ddala okuyitamu,” bwe yategeezezza.

Abayiseemu baakudding’ana mu luzannya olwokubiri mu bbanga lya wiiki bbiri okufunako bana abasajja n’abakazi.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *