Bannayuganda basatu be bagenda okukola obwaddiifiri e Birmingham mu mizannyo gya Common Wealth Games egiggulawo ku Lwokuna. Ng’ogyeeko abaagenze okuvuganya mu mizannyo egitali gimu, Uganda era yaweerezza baddiifiri nga baano baalondeddwa ebibiina ebiddukanya emizannyo gyabwe egy’ensi yonna. Pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (UBF) Moses Muhangi y’omu ku bagenze okuwanirira bbendera ya Uganda mu kulamula emizannyo
Bannayuganda basatu be bagenda okukola obwaddiifiri e Birmingham mu mizannyo gya Common Wealth Games egiggulawo ku Lwokuna.
Ng’ogyeeko abaagenze okuvuganya mu mizannyo egitali gimu, Uganda era yaweerezza baddiifiri nga baano baalondeddwa ebibiina ebiddukanya emizannyo gyabwe egy’ensi yonna.

Pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (UBF) Moses Muhangi y’omu ku bagenze okuwanirira bbendera ya Uganda mu kulamula emizannyo ginonga yalondeddwa ekibiina kya AIBA.
Omulala ye pulezidenti wa Uganda Weightlifting Federation (UWF) Salim Musoke ng’ono aludde ku bwaddiifiri mu kusitula obuzito mu nsi yonna

Kuno era kuliko Harriet Nattabi Ssemugabi ng’ono ddiifiri wa Badminton.
Muhangi yagendedde mu kibinja ekyasitudde ku Mmande nga bukya ate Musoke ne Nattabi baagenze mu kiro ekyakeesezza olwokubiri.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *