Uganda enoonya ‘quarter’ esooka mu basketball w’abakazi.

Uganda enoonya ‘quarter’ esooka mu basketball w’abakazi.

Women’s Afrobasket 2023 Nigeria 69-35 DR. Congo Mali 80-66 Uganda Rwanda 64-35 Ivory Coast Cameroon 55-53 Mozambique Leero Lwamukaaga Uganda – Senegal DR. Congo – Misiri Mozambique – Guinea Ivory Cost – Angola EKIRO kya leero (July 29, 2023) Gazelles ttiimu y’eggwanga ey’abakazi ba basketball lw’ekakasa oba yeesogga ‘quarter’ za Afrika sizoni eno 2023 nga

Women’s Afrobasket 2023

Nigeria 69-35 DR. Congo

Mali 80-66 Uganda

Rwanda 64-35 Ivory Coast

Cameroon 55-53 Mozambique

Leero Lwamukaaga

Uganda – Senegal

DR. Congo – Misiri

Mozambique – Guinea

Ivory Cost – Angola

EKIRO kya leero (July 29, 2023) Gazelles ttiimu y’eggwanga ey’abakazi ba basketball lw’ekakasa oba yeesogga ‘quarter’ za Afrika sizoni eno 2023 nga battunka ne Senegal mu kisaawe kya Kigali Arena ekya Rwanda.

Eggulo baakubiddwa Mali 80-66 mu kibinja C mwe bavuganyiza nga kati beetaaga wiini ku Senegal okweyongerayo ku mutendera oguddako mu mpaka zeebeetabyemu omulundi ogwokusatu mu byafaayo oluvannyuma lwa (1997 ne 2015).

Bukedde ekusunsuludde abazannyi 12 abawaniridde bendera ya Uganda mu kibuga Kigali ekya Rwanda nga banoonya okuteekawo ekyafaayo kya ‘quarter’ esoose mu byafaayo by’eggwanga lino mu mpaka z’abakazi zino (Women’s Afrobasket 2023).

Melissa Akullu 23, ono ali mu mwaka gusemba ku Vanguard University eya Amerika ng’asoma diguli mu Mawulire (Mass Communication NIA). S.6 ne S.4 yali ku Gayaza High ate P.7 ku Aga khan. Guno mulundi gusooka okuzannyira Gazelles.

Claire Lamunu 30, alina diguli mu Bio-Chemestry ne Masters mu Bio Technology okuva ku Vanguard University eya Amerika, S.6 ne S.4 yali Namagunga P7 St. Angella P/S Kisaasi ava Kochkweyo mu disitulikiti y’e Gulu.

Hope Akello 24, azannya ng’omuteebi mu JKL Lady Dolphins mu liigi y’eggwanga eya basketball ne Gazelles, asoma diguli eyookubiri ku Victoria University.

Jane Asinde, azannya ng’awerekera abateebi mu kiraabu ya UTEP Miners Women basketball eya Texas University mu Amerika. Azaalibwa ku kyalo Kanakisi mu Tororo, asoma diguli mu bizinensi Entrepreneurship ku University of Texas mu Amerika, S.6 ne S.4 yali Buddo SS ate P.7 ku Murchison Bay P/S Luzira.

Jannon Otto 26, nzaalwa za California mu Amerika wabula omwaka oguwedde yasalawo okuzannyira Gazelles eya Uganda, azannyira kiraabu ya Eastern Mavericks eya Australia.

Evelyn Nakiyingi 23, azannya ng’omuzibizi mu JKL Lady Dolphins mu liigi y’eggwanga eya basketball ne Gazelles, asoma diguli eyookubiri ku Victoria University.

Priscilla Abigail 23, azannya ng’omuzibizi ate awerekera abateebi okuva ku Grayson College eya Amerika gy’asoma diguli mu ‘Physical Therapy’, alina dipulooma mu Bizinensi ku UCU Mukono, S.6 Buddo SS, S.4 St. Mary’s Kitende ne P.7 ku Hoima Public School.

Ritah Imanishimwe 27, azannya ng’omuzibizi ate omuteebi mu JKL Lady Dolphins mu liigi y’eggwanga eya basketball ne Gazelles.

Maria Najjuma 19 alina obutuuze bwa Senegal, azannyira New Mexico Lobos Women’s basketball eya Mexico mu Amerika.

Flavia Oketcho ye kapiteeni wa Gazelles asinga kuzannya ng’omuzibizi mu JKL Lady Dolphins mu liigi y’eggwanga eya basketball.

Lydia Babirye 19, y’omu ku bazannyi abato abali ku ttiimu y’eggwanga, azannyira kiraabu ya Evangel University mu Springfiel Missouri mu Amerika.

Brenda Ekon 27, muteebi wa JKL Lady Dolphins mu liigi y’eggwanga eya basketball ne Gazelles.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *