Uganda Martyrs esirisizza Kawempe Muslim Ladies FC

Uganda Martyrs esirisizza Kawempe Muslim Ladies FC

ABAZIBIZI ba Kawempe Muslim Ladies bavudde mu kisaawe kya St. Gerald e Lubaga nga beevuma eyaliko ssita waabwe Anitah Namata owa Uganda Martyrs okubateeba ggoolo mu liigi ya babinywera eya FUFA Women’s League.  Namata eyaliko omuteebi wa Kawempe Muslim yakubye abaaliko bakama be awabi n’abaggyako obubonero busatu mu mupiira ogwabaddeko obugombe n’abalanga okumutunda olw’omutindo ogw’ekiboggwe

ABAZIBIZI ba Kawempe Muslim Ladies bavudde mu kisaawe kya St. Gerald e Lubaga nga beevuma eyaliko ssita waabwe Anitah Namata owa Uganda Martyrs okubateeba ggoolo mu liigi ya babinywera eya FUFA Women’s League. 

Namata eyaliko omuteebi wa Kawempe Muslim yakubye abaaliko bakama be awabi n’abaggyako obubonero busatu mu mupiira ogwabaddeko obugombe n’abalanga okumutunda olw’omutindo ogw’ekiboggwe gwe yaliko. 

Guno mupiira gwakuna nga Kawempe ekubwa, wansi w’omutendesi Ayub Khalifa Kiyingi. Kino tekibangawo kuba ttiimu ye yali emanyiddwa mu kuwangula buli mupiira so nga sizoni eno ebintu tebinnamutambulira bulungi.

Uganda Martyrs ye yasoose okulengera akatimba ng’eyita mu Anitah Namata wabula Hadijah Nandago owa Kawempe Muslim n’ateeba ey’ekyenkanyi. Mu kitundu eky’okubiri, Namata yakubye ggoolo ey’akalango eyasirisizza abawagizi ba Kawempe ne basigala nga beewuunya.

Baabadde bakyali ku ebyo ate Latifah Nakasi n’abakutula emitima bwe yakubye ggoolo ey’okusatu. Uganda Martyrs obuwanguzi buno bwagitutte mu kifo kyakubiri ku bubonero 16 mu mipiira 8 so nga yo Kawempe yasigadde mu kyakuna ku bubonero 11. 

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *