Uganda tetidde Ethiopia.

Uganda tetidde Ethiopia.

Abazannyi ba Crested Cranes, omuli Juliet Nalukenge, Margret Kunihira, Daphine Nyayenga abali mu ttiimu yabatasussa myaka 17 baagala kwesasuza Ethiopia okubalemesa okukiika mu World Cup eyalina okubeera mu Costa Rica omwaka guno. Ku Lwokuna mu CECAFA Women Championship Uganda Vs Ethiopia (7:00) Ttiimu y’eggwanga ey’abakazi (Crested Cranes) akalulu kagisudde ku Ethiopia gye batalima nayo kambugu

Abazannyi ba Crested Cranes, omuli Juliet Nalukenge, Margret Kunihira, Daphine Nyayenga abali mu ttiimu yabatasussa myaka 17 baagala kwesasuza Ethiopia okubalemesa okukiika mu World Cup eyalina okubeera mu Costa Rica omwaka guno.

  • Ku Lwokuna mu CECAFA Women Championship
  • Uganda Vs Ethiopia (7:00)

Ttiimu y’eggwanga ey’abakazi (Crested Cranes) akalulu kagisudde ku Ethiopia gye batalima nayo kambugu mu mpaka ez’omuzinzi.

Uganda ye yakulembedde ekibinja A n’obubonero 9 mu mipiira esatu so nga Ethiopia yakutte kyakubiri mu kibinja B n’obubonero 7 mu  mipiira 3.

Omutendesi George William Lutalo yagambye nti Ethiopia kigezo ky’amaanyi nnyo era bagenda kw’ongera ebirungo mu kutendekebwa okulaba nga ttiimu etuuka ku fayinolo.

“Ethiopia ttiimu nnungi era tugiwa ekitiibwa wabula naffe twagala kukomya jjoogo lyabwe kuba bazze batuwandula mu buli mpaka ez’omuzinzi.” Lutalo bwe yategeezezza.

Abazannyi ba Crested Cranes, omuli Juliet Nalukenge, Margret Kunihira, Daphine Nyayenga abali mu ttiimu yabatasussa myaka 17 baagala kwesasuza Ethiopia okubalemesa okukiika mu World Cup eyalina okubeera mu Costa Rica omwaka guno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *