UOC ebangudde abakulira ebibiina  bwemizannyo.

UOC ebangudde abakulira ebibiina  bwemizannyo.

Pulezidenti w’akakiiko ka Uganda Olympic Committee (UOC) akavunaanyizibwa ku mizannyo gya Olympics mu ggwanga, Dr. Donald Rukare akubirizza abamalirizza emisomo gy’obukulembeze mu mizannyo okukozesa obukugu bwe bafunye okutumbula omutindo ge’ebibiina by’emizannyo mwe basibuka. Akubirizza n’abantu abalala bangi abaagala emizannyo okwettanira emisomo egitegekebwa UOC nga gisasulirwa ekakiiko k’ensi yonna aka International Olympic Committee (IOC). Rukare abadde

Pulezidenti w’akakiiko ka Uganda Olympic Committee (UOC) akavunaanyizibwa ku mizannyo gya Olympics mu ggwanga, Dr. Donald Rukare akubirizza abamalirizza emisomo gy’obukulembeze mu mizannyo okukozesa obukugu bwe bafunye okutumbula omutindo ge’ebibiina by’emizannyo mwe basibuka.

Akubirizza n’abantu abalala bangi abaagala emizannyo okwettanira emisomo egitegekebwa UOC nga gisasulirwa ekakiiko k’ensi yonna aka International Olympic Committee (IOC).

Rukare abadde ku mutimbagano mu kutikkira abayizi 374 mu mitendera esatu wabula nga bangi babadde ku mutimbagano.

“Twagala mulage enkukakyuka mu mizannyo mu ggwanga,” bwe yategeezezza.

Abayizi 74 batikkiddwa nga bawangudde ebbaluwa ya dipulooma ng’abalala baafunye satifikeeti nga ku bano, kwabaddeko abasajja 229 ate abakazi 145.

“Tusiima ebibiina by’emizannyo ebikolaganye n’abayizi baffe. Tusiima n’okweyongera kw’abakyala mu misomo gino kuba eno y’emu ku kampeyini za IOC,” akulira ekisomo gino George Wagogo bw’ategeezezza n’agamba nti baakuddamu okusomesa mu March nga batandika n’abakyala.

Mu musomo guno ogumaze emyezi mukaaga era Wagogo yakubirizza abaafunye amabaluwa nti waliwo emikisa eky’okweyongera okusoma era basaanye baginoonye.

Ebitundu ebirala awaabadde emisomo gya ttiimu naddala egya satifikeeti kuliko; Kamuli, Gulu, Fort Portal n’e Kyangwali mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamo.

Ate eyatandikawo emisomo gino mu UOC nga kati mmemba wa IOC, William Blick yategeezezza nti baatandika mu 2015 nga kati baakafulumya abayizi abasoba mu 2,000.

“Kino kyali kimu ku bigendererwa bya UOC okusomesa abakulira emizannyo mu ggwanga kuba bangi baali bamala geekolera. Lubadde lugendo luwanvu nga twagala kuzibikira kituli kya bukulembeze mu mizannyo kuba tewaali mukisa ogwo. Twagala Uganda ebeere eggwanga erisinga mu mizannyo nga tuyitira mu kugiddukanya obulungi,” Blick bwe yategeezezza nga tannaba kukwasa bayizi mabaluwa gaabwe.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *