URA FC Egobye n’ewa abawagizi essanyu.

URA FC Egobye n’ewa abawagizi essanyu.

Leero mu liigiUPDF – Mbarara CityEgyazannyiddwaURA 4-1 Arua HillBUL 1-1 NECWakiso 3-0 BusogaOMUTENDESI wa URA, David Obua, yafunye ku ssanyu bwe yaduumidde ttiimu yen’ekuba Arua Hill (4-1) mu liigi y’eggwanga.Baabadde Lugazi eggulo mu maka ga URA nga bannyinimu baaguyingidde bali ku puleesa olw’omutindo gwabwe ogubuzaabuza.Baabadde basembye kukubwa NEC (2-0) e Lugogo ekyatadde Obua mu kattu.

Leero mu liigi
UPDF – Mbarara City
Egyazannyiddwa
URA 4-1 Arua Hill
BUL 1-1 NEC
Wakiso 3-0 Busoga
OMUTENDESI wa URA, David Obua, yafunye ku ssanyu bwe yaduumidde ttiimu ye
n’ekuba Arua Hill (4-1) mu liigi y’eggwanga.
Baabadde Lugazi eggulo mu maka ga URA nga bannyinimu baaguyingidde bali ku puleesa olw’omutindo gwabwe ogubuzaabuza.
Baabadde basembye kukubwa NEC (2-0) e Lugogo ekyatadde Obua mu kattu. Wabula eggulo yaggyeeyo obukodyo obupya obwabuzizza mutendesi munne Livingstone Mbabazi owa Arua Hills embiibya.
Mbabazi yatendekako URA nga kyabadde kisuubirwa okugikalubirako. Safi Agu Mansoor ye yasoose okuteebera Arua Hill mu ddakiika yoomukaaga olwo aba URA ne balowooza nti era bizzeemu kyokka Joseph Ssemujju yabagikubidde ggoolo eyasoose okwazze eya Ibrahim Wamanah.
Oluvannyuma era Ssemujju yazzeemu n’ateeba eyookusatun’eyookuna. Kati emipiira 5, Obua alinamu wiini 2, okukubwa 2 n’okulemagana gumu.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *