Villa egobye Petros Koukouras n’asikizibwa Jackson Magera .

Villa egobye Petros Koukouras n’asikizibwa Jackson Magera .

Sizoni ewedde Villa yalwanye okumalira mu kifo ky’e 12. Yamazzeeko n’obubonero 33 ate mu Uganda Cup yakubwa BUL ku ‘quarter’. Jackson Magera abadde omumyuka w’omutendesi mu SC Villa azziddwa mu bigere by’Omuyonaani Petros Koukouras 35, eyakwattiddwa ku nkoona eggulo akawungeezi. Okusinziira ku kiwandiiko ekyateereddwaako omukono pulezidenti wa Villa, Hajji Omar Ahmed Mandela, endagaano y’abadde omutendesi

Sizoni ewedde Villa yalwanye okumalira mu kifo ky’e 12. Yamazzeeko n’obubonero 33 ate mu Uganda Cup yakubwa BUL ku ‘quarter’.

Jackson Magera abadde omumyuka w’omutendesi mu SC Villa azziddwa mu bigere by’Omuyonaani Petros Koukouras 35, eyakwattiddwa ku nkoona eggulo akawungeezi.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyateereddwaako omukono pulezidenti wa Villa, Hajji Omar Ahmed Mandela, endagaano y’abadde omutendesi waabwe Petros Koukouras yasaziddwaamu eggulo (Lwakuna) era n’asikizibwa Magera ng’omutendesi w’ekiseera.

“SC Villa ekkiriziganyizza ne Koukouras okusazaamu endagaano ye, tumwebaza okutubeererawo mu sizoni ewedde ebadde enzibu ennyo era tutwala omukisa guno okulangirira Magera nti y’asigadde ebbanga ly’amaze naffe, enkyukakyuka endala zijja kulangirirwa gye bujja,” ebbaluwa bw’esoma.

Sizoni ewedde Villa yalwanye okumalira mu kifo ky’e 12. Yamazzeeko n’obubonero 33 ate mu Uganda Cup yakubwa BUL ku ‘quarter’.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *