BANNANTAMEGGWA ba liigi aba Vipers bali mu keetalo mu katale k’abazannyi nga baagala okuggumiza ttiimu yaabwe ng’oluzannya olwokubiri olwa sizoni eno terunnaddamu. Bano bali mu nteeseganya n’omuzannyi Godfrey Lwesibawa owa Gaddafi ne Martin Kizza atalina ttiimu mu kiseera kino. Lwesibawa ne Kizza bombi kigambibwa nti baakussa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri bayambe Vipers mu
BANNANTAMEGGWA ba liigi aba Vipers bali mu keetalo mu katale k’abazannyi nga baagala okuggumiza ttiimu yaabwe ng’oluzannya olwokubiri olwa sizoni eno terunnaddamu.
Bano bali mu nteeseganya n’omuzannyi Godfrey Lwesibawa owa Gaddafi ne Martin Kizza atalina ttiimu mu kiseera kino.
Lwesibawa ne Kizza bombi kigambibwa nti baakussa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri bayambe Vipers mu mpaka za CAF. Abazannyi bombi be baasemba okuwangulira Express ekikopo kya liigi mu sizoni ya 2020-2021 ne CECAFA Kagame Cup mu kampeyini y’emu.

Baayabulira Express sizoni ewedde bwe baafuumuula Wasswa Bbosa. Martin Kizza ye abadde talina ttiimu sso nga Lwesibawa abadde yagoberera Bbosa mu Gaddafi.
Vipers eyagala kugatta bazannyi bano ku Karim Ndugwa eyavudde mu BUL FC oluvannyuma lw’endagaano ye okugwaako bongere okuggumiza ttiimu yaabwe.
Vipers yamazeeko oluzannya olusooka n’obubonero 27 mipiira 14 nga bali mu kifo kyakusatu mu liigi ya babinywera.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *