Vipers eri bulindaala okweng’anga Raja Casablanca.

Vipers eri bulindaala okweng’anga Raja Casablanca.

OMUZIBIZI wa Vipers, Ashraf Mandela eyasoose okuteeba ggoolo mu ddakiika 90 oluvannyuma lw’okumala emipiira munaana nga ttiimu eno teteeba, alina essuubi nti eno yabadde ntandikwa ya ttiimu yaabwe okudda ku maapu.  Baabadde mu kutendekebwa e Kitende ku Lwokusatu nga beetegekera okudding’ana ne Raja Casablanca eya Morocco mu za CAF Champions League. Omutendesi wa Vipers omuggya

OMUZIBIZI wa Vipers, Ashraf Mandela eyasoose okuteeba ggoolo mu ddakiika 90 oluvannyuma lw’okumala emipiira munaana nga ttiimu eno teteeba, alina essuubi nti eno yabadde ntandikwa ya ttiimu yaabwe okudda ku maapu. 

Baabadde mu kutendekebwa e Kitende ku Lwokusatu nga beetegekera okudding’ana ne Raja Casablanca eya Morocco mu za CAF Champions League. Omutendesi wa Vipers omuggya Alex Isabirye yabadde abawa obukodyo ku ngeri y’okuzibiramu, okubba emipiira, okuteeba ssaako okufuna ggoolo okuva mu bisobyo

Ku Lwokubiri, Vipers yattunse ne Wakiso Giants mu Stanbic Uganda Cup era Mandela ye yateebye nga guggwa (1-1) mu ddakiika 90 oluvannyuma ne bawangulira ku peneti (4-3). Vipers ebadde emaze eddakiika 708 ng’enoonya ggoolo tegiraba. Ggoolo gye baakubye Wakiso Giants yabadde yaakubiri okuva lwe baasemba okuteeba nga bakuba BUL (2-1) mu liigi mu December w’omwaka oguwedde. 

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *