Vipers ezzeemu okuwanduka mu za CAF Champions.

Vipers ezzeemu okuwanduka mu za CAF Champions.

Bakyampiyoni aba Vipers bazzeemu okuwanduka mu za CAF Champions nga kati  obwongo bwonna buli ku liigi kukiika. Baagula abazannyi okuli; Patrick Mbowa {URA}, Richard Matovu {Arua Hill}, Grant Masiko {Wakiso Giants}, David Bagoole, Lius Otavi, Giancarlo Lopez Rodriguuez, Mohamed Salem Ekbad {Nouadhibou eya Mauritania ne Fumador Awisome {Ghana}. Okulaga nnti baagala ttiimu ennyweevu, baleese abagwira

Bakyampiyoni aba Vipers bazzeemu okuwanduka mu za CAF Champions nga kati  obwongo bwonna buli ku liigi kukiika.

Baagula abazannyi okuli; Patrick Mbowa {URA}, Richard Matovu {Arua Hill}, Grant Masiko {Wakiso Giants}, David Bagoole, Lius Otavi, Giancarlo Lopez Rodriguuez, Mohamed Salem Ekbad {Nouadhibou eya Mauritania ne Fumador Awisome {Ghana}.

Okulaga nnti baagala ttiimu ennyweevu, baleese abagwira 8 kwe baayongera n’omutendesi Omubrazil Leonard Martins Neiva n’omumyuka we Lukusa Kayembe Raoul enzaalwa y’e DR Congo.

Abamu ku bazannyi abalina obumanyirivu mu ttiimu eno kuliko; Milton Karisa, Yunus Sentamu, Siraje Senatmu, Bright Anukani, Murushid Juuko, Martin Kizza, Nzau Lutumba, Livingstone Mulondo, Fabian Mutombora, Alfred Mukendereza n’abalala.

Ku bazannyi abo, bangi ku bo baabadde mu ttiimu eyawangudde ebikopo ebibiri sizoni ewedde.

Wadde tebaakoze bulungi mu Champions League, basuubirwa nti obusungu buno bagenda ku buleeta mu liigi era Gadaffi gye batandika nayo ku bgenyi ebeerinde nayo ku bugenyi ebeerinde.

Karisa ye Kapiteeni.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *