Mu mpaka za liigi yababinywera eya Uganda, URA fc yakukyaza Vipers SC ku Arena of Visions e Ndejje mu mupiira ogw’okufa n’okuwona. URA erina ejjoogo ku Vipers nga munzanya mwenda zebeesisinkanye ezisembyeyo, URA ewanguddeko emirundi 5, amaliri 2 ate nga Vipers awanguddeko 2. Omulundi gumu gwokka Vipers SC gwerumbye URA ewaayo nejikuba ate nga yo
Mu mpaka za liigi yababinywera eya Uganda, URA fc yakukyaza Vipers SC ku Arena of Visions e Ndejje mu mupiira ogw’okufa n’okuwona. URA erina ejjoogo ku Vipers nga munzanya mwenda zebeesisinkanye ezisembyeyo, URA ewanguddeko emirundi 5, amaliri 2 ate nga Vipers awanguddeko 2. Omulundi gumu gwokka Vipers SC gwerumbye URA ewaayo nejikuba ate nga yo Ura ekubannyo Vipers SC e Kitende nga ne sizoni eno oluzannya olwasooka, URA yagukimayo ku Vipers nga yawangula goolo 2-0 ezaateebwa Joachim Ojera ne Rwothomio Cromwell. Omutendesi omuzungu Roberto Oliviera yetaaga obuwanguzi buno okwongera okugaziya essuubi ery’okutwala ekikopo kya liigi nga naye singa agusuula, KCCA ne URA zijja kumuteeka ku kikaliriro. Amaaso gakunywerera ku bateebi ba kirabbu zombi abalnji okuli Cromwell Rwothomio ne Steven Mukwala aba URA wamu ne Ceaser Manzoki ne Yunus Sentamu aba Vipers. Vipers wamala guno wakubbinkana ne KCCA.
Mu mirala ejinaasambibwa wiiki eno:
Mande: KCCA Vs Arua Hill SC
Lwakubiri: URA Vs Vipers SC
Mbarara City Vs Police FC
Busoga United FC Vs UPDF
Lwakusatu: Wakiso Giants FC Vs Express FC
Onduparaka Vs Villa
Tooro United Vs Bright Stars
Lwakutaano: Gaddafi FC Vs BUL FC
Lwamukaaga: KCCA Vs Vipers
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *