Bya Jimmy Nteza Vipers SC yawangudde ekikopo kya liigi wadde nga ekyabuzaayo emipiira okumalako sizoni. Kino kiddiridde kirabbu endala ezijigoba okubeera n’omutindo omubi nga KCCA owokubiri alekeddwa obubonero obusoba mu kkumi. Vipers SC yawangudde ekikopo ekyokutaano ekya liigi bukyanga yetaba mu liigi enkulu. Eno yatwala ekikopo kya 2009-10, 2014-15, 2017-18 wamu ne kya 2019-20. Abasambi
Bya Jimmy Nteza
Vipers SC yawangudde ekikopo kya liigi wadde nga ekyabuzaayo emipiira okumalako sizoni. Kino kiddiridde kirabbu endala ezijigoba okubeera n’omutindo omubi nga KCCA owokubiri alekeddwa obubonero obusoba mu kkumi. Vipers SC yawangudde ekikopo ekyokutaano ekya liigi bukyanga yetaba mu liigi enkulu. Eno yatwala ekikopo kya 2009-10, 2014-15, 2017-18 wamu ne kya 2019-20. Abasambi ba Vipers SC okuli Milton Kaliisa, Yunus Sentamu Jr, Ceaser Manzoki, Halid Lwaliwa, Bobosi Byaruhanga n’abalala balaze omutindo omulungi wansi w’omutendesi Roberto Oliviera owe Brazil.
Bano kati amakanda bagatadde ku kikopo ekya Uganda kiyite Kakungulu nga wano bakuttunka ne Mbarara City, BUL FC, wamu ne Booma FC ezaayitamu ku luzannya oluddirira olwakamalirizo. Vipers SC yeyatwala ekikopo kino sizoni ewedde nga yakuba BUL ku fayinolo goolo zaali 8-0. Vipers enonya kikopo kyakusatu ekya Kakungulu oluvannyuma lwokutwala ekya 2015-16 ne 2020-21.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *