Ashraf Mandela yafuuse omuzira wa vipers bwe yagiteebedde ggolo esooka mu mipiira 8 gye babadde basebye okuzannya. Baabadde mu mpaka za Stanbic Uganda Cup nga baalemaganye(1-1) mu 90 olwo vipers n’ewangulira ku peneti(4-3). Guno gwe mupiira omutendesi wa ttiimu eno omuggya Alex Isabirye gwe yasoose okugitendeka . Yasikidde Omubrazil Beto Bianchi eyagobeddwa gye buvuddeko olwa
Ashraf Mandela yafuuse omuzira wa vipers bwe yagiteebedde ggolo esooka mu mipiira 8 gye babadde basebye okuzannya.
Baabadde mu mpaka za Stanbic Uganda Cup nga baalemaganye(1-1) mu 90 olwo vipers n’ewangulira ku peneti(4-3).
Guno gwe mupiira omutendesi wa ttiimu eno omuggya Alex Isabirye gwe yasoose okugitendeka .

Yasikidde Omubrazil Beto Bianchi eyagobeddwa gye buvuddeko olwa ttiimu okuvumbeera.
Vipers yazze mu mupiira guno ng’emaze emipiira munaana nga tefuna ggoolo mu ddaakiika 90 .
Yali yasemba kuteeba nga bawangula BUL (2-1) mu liigi mu December w’omwaka oguwedde.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *