MMEEYA wa Kyengera Town Council, Mathias Walukagga ataddewo ekikopo ekigenda okuvuganyizibwako emiruka 10 egikola Kyengera. Empaka zino zaatuumiddwa ‘Mayor Cup’. Empaka z’ekikopo kino zaatandise eggulo ku Lwokubiri nga April 4, 2022 era zaakukomekkerezebwa ku Iddi era ttiimu ya Kisozi FC yagobye ginnaayo eya Nsangi Football Club goolo 2 ku l. Omupiira guno gwabadde ku kisaawe
MMEEYA wa Kyengera Town Council, Mathias Walukagga ataddewo ekikopo ekigenda okuvuganyizibwako emiruka 10 egikola Kyengera. Empaka zino zaatuumiddwa ‘Mayor Cup’.
Empaka z’ekikopo kino zaatandise eggulo ku Lwokubiri nga April 4, 2022 era zaakukomekkerezebwa ku Iddi era ttiimu ya Kisozi FC yagobye ginnaayo eya Nsangi Football Club goolo 2 ku l. Omupiira guno gwabadde ku kisaawe kya Nsangi Play Ground.
Walukagga yategeezezza nti ensonga eyamutegesezza ekikopo kino kwe kutumbula ebyemizannyo mu kitundu ky’akulembera bw’atyo n’asaba n’abantu bonna abaagaliza Kyengera ebirungi okumuwatirako basobole okubitumbula mu kitundu kino.
‘’Ndi mukulembeze ayagala ennyo eby’emizannyo era kinkakatako okutumbula ebitone by’abalala. Nnina essuubi nti empaka zino we zinaggweera nga tufunye ku basambi abaggya okwegatta ku ttiimu ez’amaanyi kuba abaana bangi abalina ebitone mu Kyengera,’’ Walukagga bwe yategeezezza.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *