Empaka za World Cup – Argentina etandise nómutindo ogwékiboggwe. Mu mpaka za World Cup eziyindira e Qatar, Argentina ekiguddeko bwekubiddwa Saudi Arabia goolo 2-1 ate nga Argentina yeyasoose okuteeba mu mupiira guno. Saudi Arabia ye ttiimu etali ya bulaaya esoose okukuba Argentina mu mpaka zino okuva lwekibadde kyasemba okukolebwa Cameroon mu mpaka za 1990. Saudi
Empaka za World Cup – Argentina etandise nómutindo ogwékiboggwe.
Mu mpaka za World Cup eziyindira e Qatar, Argentina ekiguddeko bwekubiddwa Saudi Arabia goolo 2-1 ate nga Argentina yeyasoose okuteeba mu mupiira guno.
Saudi Arabia ye ttiimu etali ya bulaaya esoose okukuba Argentina mu mpaka zino okuva lwekibadde kyasemba okukolebwa Cameroon mu mpaka za 1990.
Saudi Arabia era ye ttiimu ya Asia esoose okukuba Argentina mu mpaka zino.
Omupiira omulala oguzanyiddwa Denmark eremaganye ne Tunisia 0 – 0, Mexico eremaganye ne Poland 0 – 0, kyokka mu mupiira guno omuteebi wa Poland Roberto Lewandowisiki awereddwa penati neemulema.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *