World Cup; Messi ategeezezza nti basinga kweraliikira Brazil.

World Cup; Messi ategeezezza nti basinga kweraliikira Brazil.

Kapiteeni wa Argentina, Lionel Messi agambye nti mu World Cup wadde mulimu amawanga nga Bufalansa, Spain ne Bungereza agakola obulungi, ye ne banne basinga kweraliikira Brazil era tebasaba kugisisinkana ssaawa eno. Messi, azannya World Cup ye esemba era ng’ayagala kuwummula na kikopo agamba ttiimu yokka esobola okuyimirira mu kirooto kye ye Brazil bwe bava ku

Kapiteeni wa Argentina, Lionel Messi agambye nti mu World Cup wadde mulimu amawanga nga Bufalansa, Spain ne Bungereza agakola obulungi, ye ne banne basinga kweraliikira Brazil era tebasaba kugisisinkana ssaawa eno.

Messi, azannya World Cup ye esemba era ng’ayagala kuwummula na kikopo agamba ttiimu yokka esobola okuyimirira mu kirooto kye ye Brazil bwe bava ku ssemazinga omu (South Amerika).

“Tulabye emipiira gyonna mu mpaka zino. Brazil ye ttiimu ensuza nga ntunula kuba balina ttalanta ez’enjawulo. Spain ne Bufalansa nabo balungi wabula tebatuuka ku Brazil,” Messi bwe yagambye.

Argentina yasiitaanye okukuba Australia (2-1) okwesogga ‘quarter’.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *