Ttiimu y’eggwanga lya Senegal emanyiddwa nga ‘The Lions of Teranga’ bakoze ebyafaayo bwebafuuse ttiimu y’ Africa esoose okuva mu kibinja mu mpaka z’omupiira eza World Cup 2022 eziyindira e Qatar. Senegal mu kibinja evuddemu nga ttiimu ekutte eky’okubiri mu kibinja A ekikulembeddwa Netherlands, eno yakubye omutegesi Qatar ne Equador mu mupiira ogubaddeko n’obugombe. Ggoolo za
Ttiimu y’eggwanga lya Senegal emanyiddwa nga ‘The Lions of Teranga’ bakoze ebyafaayo bwebafuuse ttiimu y’ Africa esoose okuva mu kibinja mu mpaka z’omupiira eza World Cup 2022 eziyindira e Qatar.
Senegal mu kibinja evuddemu nga ttiimu ekutte eky’okubiri mu kibinja A ekikulembeddwa Netherlands, eno yakubye omutegesi Qatar ne Equador mu mupiira ogubaddeko n’obugombe.
Ggoolo za Senegal ezisoose ziteebeddwa omusambi Ismaila Sarr ate nga eya Equador eteebeddwa Moises Caicedo.
Equador eyongedde okutaama nga eyita mu muzannyi Felix Torres olwo negubeera ggoolo 2-2 wakati ku njuyi zombi okunyigiriza ebitagambika.
Senegal bwetyo esobodde okufuna ggoolo ey’okusatu nga eyita mu muzannyi Kalidou Koulibaly era omukwasi wa ggoolo Galindez tasobodde kulaba mupiira weguyise.
Wadde Equador ekoze buli kimu naye emikisa omuva ggoolo gyonna gigaanye bwetyo Senegal neyitawo okugenda ku luzannya lwa ttiimu 16 ezibeera zivudde mu bibinja era nga guno gwe mulundi ogusookedde ddala bukya batandika kwetaba mu World Cup mu 2002.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *