YUNIVASITE 20 okuva mawanga ag’enjawulo ge gamaze okukakasa okwetaba mu mpaka za Rugby 7s ne Ttena ez’omulundi ogwokubiri okutegekebwa wano mu ggwanga. Abalabi 24Empaka zino ez’emirundi ebiri abakazi n’abasajja eza ‘2nd FASU Tennis Slam ne 2nd Kings of Africa University Rugby 7s ziri ku mutendera gwa nsi yonna nga zaakubeera ku kisaawe kya IMPIS grounds
YUNIVASITE 20 okuva mawanga ag’enjawulo ge gamaze okukakasa okwetaba mu mpaka za Rugby 7s ne Ttena ez’omulundi ogwokubiri okutegekebwa wano mu ggwanga.
Abalabi 24
Empaka zino ez’emirundi ebiri abakazi n’abasajja eza ‘2nd FASU Tennis Slam ne 2nd Kings of Africa University Rugby 7s ziri ku mutendera gwa nsi yonna nga zaakubeera ku kisaawe kya IMPIS grounds – Graveyard ku yunivasite y’e Makerere wakati wa October 8-10, 2021.
Zino okuli; Jomo Kenyatta University of Science and Technology, Kenyatta University, United States International University-Africa, Mbarara University of Science and Technology, University of Benghazi, University of Tripoli, University of KwaZulu Natal, Makerere University, University of Johannesburg, University of Pretoria, Stellenbosch University, Women’s University in Africa, North West University, Kabale University, Busitema University, Day Star University, Meru University n’endala.
Omuwanguzi mu za Rugby 7s waakuyitawo butereevu okwetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ‘2022 FISU University World Rugby cup’ mu kibuga Kazan ekya Russia. Ate abawanguzi mu za ttena baakwetaba mu mizannyo gya yunivasity ez’ensi yonna ‘2022 world University Games’.
Guno mulundi gwakubiri nga Uganda etegeka empaka zino, ezasooka zaaliwo wakati wa October 19-20, 2019 ku yunivasite y’e Makerere. Zaawangulwa University of Johannesburg, Uganda Martyrs, Makerere abategesi, Kyambogo University, Uganda Christian University n’endala.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *