Yunivasite zizimbidde eggwanga ebitone – Obal.

Yunivasite zizimbidde eggwanga ebitone – Obal.

Ssentebe w’akakiiko akadukanya liigi y’omupiira eya yunivasite (Pepsi University Football League) atenderezza amatendekero gano olw’okukulaakulanya ttalanta ezitadde Uganda ku mwanjo mu nsi y’emizannyo. Obal Atubo yagambye nti emyaka 10 yunivasite gye gimaze nga gizannya liigi y’omupiira,kiraabu za Uganda nnyingi ne ttiimu y’eggwanga (Cranes) zigobolodde kinene kuba bassita bangi be zizadde. Yagasseeko nti liigi eno era

Ssentebe w’akakiiko akadukanya liigi y’omupiira eya yunivasite (Pepsi University Football League) atenderezza amatendekero gano olw’okukulaakulanya ttalanta ezitadde Uganda ku mwanjo mu nsi y’emizannyo.

Obal Atubo yagambye nti emyaka 10 yunivasite gye gimaze nga gizannya liigi y’omupiira,kiraabu za Uganda nnyingi ne ttiimu y’eggwanga (Cranes) zigobolodde kinene kuba bassita bangi be zizadde.

Yagasseeko nti liigi eno era ezibudde Bannayuganda bangi amaaso nti omupiira gusobola okutambulira awamu n’okusoma nga kati abazadddde tebakyakugira baana baabwe kusamba mupiira gwe baali bayita ‘ogw’abayaaye.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *