Zaha anyiinyiitizza enteeseganya ne liigi y’e Turkey.

Zaha anyiinyiitizza enteeseganya ne liigi y’e Turkey.

OMUWUWUTTANYI wa Crystal Palace, Wilfred Zaha anyiinyiitizza enteeseganya ne bannantameggwa ba liigi y’e Turkey, aba Galatasaray oluvannyuma lw’okugaana okuzza obuggya endagaano ye ku Christal Palace. Zaha, 30, enzaalwa z’e Ivory Coast ku Mmande yategeezezza nti avudde mu Palace n’ayolekera kiraabu ya Galatasaray abaalangiridde nti baatuuse ku kukkaanya naye ku ky’okumukansa. Kigambibwa nti endagaano Zaha, gye yagaanye

OMUWUWUTTANYI wa Crystal Palace, Wilfred Zaha anyiinyiitizza enteeseganya ne bannantameggwa ba liigi y’e Turkey, aba Galatasaray oluvannyuma lw’okugaana okuzza obuggya endagaano ye ku Christal Palace.

Zaha, 30, enzaalwa z’e Ivory Coast ku Mmande yategeezezza nti avudde mu Palace n’ayolekera kiraabu ya Galatasaray abaalangiridde nti baatuuse ku kukkaanya naye ku ky’okumukansa.

Kigambibwa nti endagaano Zaha, gye yagaanye ebadde ya mitwalo gya paawundi 20 buli wiiki kyokka n’asalawo afulume ekibuga London gy’amaze emyaka 10.

Zaha Palace agizannyidde emipiira 458 n’abateebera ggoolo 90 era yasindikibwayo ku bbanja okumala sizoni bbiri mu kiseera nga ali mu Manchester United.

Ku makya ga Mmande, Zaha yawandiise ekiwandiiko ekitongole ekisiibula abawagizi ba Palace n’abasaba bajjukire ebirungi by’abakoledde n’okubaagaliza emikisa.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *