Zambia yegasse mu lwokaano lw’okutegeka AFCON 2025.

Zambia yegasse mu lwokaano lw’okutegeka AFCON 2025.

Zambia yegasse ku mawanga amalala 6 ezaakesowolayo okulaga obwetaavu obwókutegeka empaka za Africa Cup of Nations ezinaabeerawo mu mwaka 2025. Zambia yegasse ku Morocco, Algeria, Senegal, Nigeria, Benin ne South Africa. Empaka zino mu kusooka zaalina kubeera mu Guinea, kyokka ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kyasazaamu Guinea okutegeka empaka zino, olwóbuteetegeka kimala naddala

Zambia yegasse ku mawanga amalala 6 ezaakesowolayo okulaga obwetaavu obwókutegeka empaka za Africa Cup of Nations ezinaabeerawo mu mwaka 2025.

Zambia yegasse ku Morocco, Algeria, Senegal, Nigeria, Benin ne South Africa.

Empaka zino mu kusooka zaalina kubeera mu Guinea, kyokka ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kyasazaamu Guinea okutegeka empaka zino, olwóbuteetegeka kimala naddala mu kuzimba ebisaawe nébirala.

Amawanga gonna gagenda kusaamu okusaba kwago mu butongole nga 16 omwezi guno ogwa December,2022, olwo nga 5 okutuuka nga 25 January 2023, CAF yakulambula amawanga aganaaba gasunsuddwa.

Okulangirira omuwanguzi kubeerawo nga 10 February, 2023.

Empaka za AFCON ezisembyeyo zaali Cameroon mu mwaka guno 2022, zaawangulwa Senegal.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *